Indirimbo ya 338 mu CATHOLIC LUGANDA

338. TUTENDE MARIA


1.1. Ggwe oli mutukuvu,
Toliiko bbala,
Lwe watonderwamu,
Wajjula enneema.
Ekidd:
: Tutende Maria, ye Nnyaffe ow’ekisa
Tutende Maria, ye Nnyaffe omwagalwa.
2.2. Anna yakuzaala,
Nga wa mukisa,
Bbaawe Yoakimu,
Naye wa ttendo.
3.3. Sitaani yalemwa
Okukufuga,
Ggwe wamubetenta,
N‟atakubojja.
4.7. Mu Batuukirivu,
Ggwe oli mukulu
Otuula mu ggulu,
Kumpi ne Yezu.
By: W.F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 338 mu Catholic luganda