Indirimbo ya 339 mu CATHOLIC LUGANDA
339. WAZAALA KRISTU
1. | A. Ekidd.: Wazaala Kristu Omulokozi n’atulokola Oli muzadde omulungi, omutiibwa. x2 |
2. | 1. Weema y‟Omukama gye yakuba mu ffe, Ye Ggwe – Ye Ggwe Ye Ggwe – Ye Ggwe Maria. Ggwe kisulo kya Katonda – mu ffe be yalonda mu Mwana we. |
3. | 2. Ekisulo ky‟Omukama kye yakola mu ffe, Ye Ggwe – Ye Ggwe Ye Ggwe – Ye Ggwe Maria Ggwe kisulo kya Katonda – mu ffe be yalonda mu Mwana we. |
4. | 3. Ekisulo kya Katonda – mu ffe be yalonda Omwana we. Maria gwe yalonda abeere naffe. x2 |
5. | 4. Nnyumba ya Katonda – mu ffe be yaganza Omwana we. Maria gwe yalonda abeere naffe. x2 |
6. | 5. Kkubo lya Katonda,- mu ffe be yaganza Omwana we. Ekkubo lye yakwata yali Maria. x2 |
7. | B.Omuzadde kitiibwa ky‟abatonde abanunuddwa. Omuzadde Nnyumba ya Zawabu etimbiddwa. Omuzadde kitiibwa ky‟abatonde abanunuddwa Omuzadde nsibuko y‟essanyu erijjudde. Omuzadde nsibuko y‟obulamu mu kukkiriza Omuzadde kitebe ky‟amagezi agajjudde. Omuzadde nsibuko y‟obulamu mu kukkiriza Omuzadde bulamu bw‟abalwadde, ababonaabona. Omuzadde ssuubi ly‟abanaku ab‟oku nsi Omuzadde weema y‟abalamu ab‟oku nsi. Omuzadde ssuubi ly‟abanaku ab‟oku nsi Omuzadde sanduuku y‟endagaano ey‟olubeerera. Omuzadde asaanira ekitiibwa eky‟olubeerera Omuzadde nnamukisa mw‟abo abalondeddwa. Omuzadde kitiibwa ky‟abatonde abanunuddwa Omuzadde weema y‟Omukama mw‟abeera. Ye Ggwe Maria |
By: Fr. Expedito Magembe |