Indirimbo ya 340 mu CATHOLIC LUGANDA
340. YALI MARIA
1. | I II 1. Yali Maria eky‟okuzaala Yezu Mirembe Ye nno ng‟akigaana, Maama! Mirembe “Laba, Mwoyo akujjira mu mwoyo Mirembe Yezu wa kuzaalibwa atyo!” Mirembe Ekidd.: Mm! Maria ye yazaala Yezu, mirembe Yozefu ye bba w’Omukyala. mirembe. x2 |
2. | 2. “Nze nzuuno, kale nja kuba Muzaana Mirembe Nzuuno nkolerwe ekigambwa” Mirembe Awo mangu ne Kigambo ng‟ajja Mirembe Yezu mu lubuto abadde! Mirembe |
3. | 3. Yali Yozefu olwo Maria atidde Mirembe Ky‟atya kwe kumuwasa oyo: Mirembe “Eky‟omu nda, kyakolebwa Mwoyo; Mirembe Twala eka Omugole wuuno! Mirembe |
4. | 4. “Kye ki, Yozefu, eky‟okutya empeta eno? Mirembe Wuuno Gabulyeri abuuza: Mirembe “Funa mu ddya Bikira, otereere! Mirembe Ye leero akufumbirwe ggwe!” Mirembe |
5. | 5. Bombi Maria ne Yozefu, baabo Mirembe Beesiima, abagatte ab‟edda! Mirembe Katonda ajja, bo bakuumi ku ye, Mirembe Wuuyo ye Mukama Yezu. Mirembe |
By: Joseph Kyagambiddwa |