Indirimbo ya 341 mu CATHOLIC LUGANDA
341. YIMBA, YIMBA
1. | 1. Yimba, yimba tenda Nnyaffe, mwoyo olw‟essanyu biibya, Tenda nnyo eyazaala Yezu, asaanye okwagalwa. |
Ekidd: | |
: Tumutende ffe Maria, Tuyimbe ffenna wamu. Ekkula lyaffe Nnyaffe Ggwe. Enteeka ebbanga lyonna. | |
2. | 2. Nnyaffe yamba beera kumpi nga sitaani atukema, Mu eno ennyanja ensunda bw‟eti, jangu Mmange nze ntaasa. |
3. | 3. Ddunda Ggwe yakwasa anti eggwanika ly‟ebirungi Tuusa abaana w‟ali Yezu, tajja kumma Ggwe by‟osaba. |
4. | 4. Vva ku aseemya n‟oyo ow‟enkwe, odduke omussi wuuyo, Koowoola, yita oyo Nnyaffe, anaamukugobera. |
5. | 5. Beera kumpi nange Mmange, mugole wa Yozefu Yamba nve ku nsi eno nange, mbeere naawe mu ddembe. |
6. | 6. Nnyaffe tuusa abaana gy‟oli, tugumye nnyo nga tufa. Mu eyo essaawa entiisa nnyingi, tutwale mangu gy‟obeera. |
By: M.H. |