Indirimbo ya 344 mu CATHOLIC LUGANDA
344. AYI YOZEFU KITANGE
Ekidd: | |
: Ayi Yozefu, nzize gy’oli. Ggw’omuteefu nnessa w’oli, Ssebo nkusaba: ntaasa akabi! | |
1. | 1. Ayi Yozefu Kitange, 3. Nzibira mu lutalo, Leero gira ekisa, Nngume ennaku zonna; Beera nnannyini byange, Ontasaanga mu ngalo, Nneme kujeeruka, Eza Kaseemeza. |
2. | 2. Ntiisa y‟amasitaani. 4. Ayi Yozefu omulungi, Jangu onnwanirire, Ggwe Omutuukirivu, Nnaagagoba ku bw‟ani? Nkwasa ekkubo eddungi, Mu ggwe nneesize. Nnyingiza mu ggulu. |
3. | 5. Ayi Yozefu Omukuumi, W‟abagenda okufa, Omponyanga obulumi, Obw‟olubeerera. |
By: M.H. |