Indirimbo ya 347 mu CATHOLIC LUGANDA
347. KUUMA, KUUMA
1. | 1. Ayi Yozefu tutenda Obutukuvu bwo Ggwe oli bba wa Maria Kuuma abaana bo. |
Ekidd: | |
: Kuuma, kuuma abaana bo, Kuuma, kuuma abaana bo. | |
2. | 2. Omuyinza wa byonna Yeefuula omwana wo, Naawe wamuleranga, Kuuma abaana bo. |
3. | 3. Katonda wamukuuma, Ye ng‟akyali muto; Wajjanjaba Omukama, Kuuma abaana bo. |
4. | 4. Erodde ng‟amunoonya, Wamuddusa ekiro, Naffe bw‟oba otuwonya, Kuuma abaana bo. |
By: W.F. |