Indirimbo ya 349 mu CATHOLIC LUGANDA
349. TUZZE AYI YOZEFU
Ekidd: | |
: Tuzze okukutendereza, Ayi Yozefu Omutiibwa, Ggwe omukuumi wa Maria Ggwe Kitaawe wa Yezu Obuyinza bwo bwa maanyi, Bw’ofunye eri Katonda Butuyambenga lutata, Tujje gy’oli mu ggulu! | |
1. | 1. Lwe wagenda e Betelemu Awamu ne Maria, N‟omunoonyeza Akayumba; Bambi! Ne kabulayo! Ne mweddira mu kawuku, Omwali obusubi, Mwe mwazazika Kayezu, Akazaalirwa abantu. |
2. | 3. Omwana ng‟avubuseeko, N‟abula mu Eklezia; Ennaku ne zikukwata, N‟omunoonya mu banno Nnaku ssatu nga ziyise, Ng‟oweereddwa omukisa. N‟omusanga mu Bakugu Ng‟abawuniikiriza. |
By: W.F. |