Indirimbo ya 350 mu CATHOLIC LUGANDA
350. YOZEFU OLI MUYAMBI
Ekidd: | |
: Oli muyambi Ssebo tuyambe tubeere mirembe. Ayi Yozefu totusuula tuli baana bo. | |
1. | 1. Tukoowoola Taata yanguwa okujuna, Ffenna tusabirenga emikisa. |
2. | 2. Ggwe Omukuza wa Yezu, Taata, Yanguwa okujuna, eddiini mu ffe bangi etulema. |
3. | 3. Tukoowoola Taata yanguwa okujuna; Anti amaka gafa gaggwaawo. |
4. | 4. Omukuumi omwesigwa totusuula yanguwa; Okujuna, ebyensi taata bitumalawo. |
5. | 5. Tukukoowoola Taata yanguwa okujuna, Tuwe okunywera ku Mutonzi. |
By: Fr. Expedito Magembe |