Indirimbo ya 353 mu CATHOLIC LUGANDA
353. YOZEFU YABANGA BBA NNYINA
1. | KATONDA (M.H.) 1. Yozefu yabanga bba Nnyina Katonda N‟akuuma Omukama bwe yajja mu ffe Kye tuva ffe abaana ba buli nsonda Tutenda Kitaffe mu bwesige bwe. x2 |
2. | 2. Tulaba Yozefu ng‟asuuta Omwana Ng‟akuuma Omutonzi, Omwana omuto Yozefu bw‟asaba, gw‟akuuma tagaana Kayezu tekamma Mukuumi waako. x2 |
3. | 3. Mu nnaku, mu bwavu, odduukirirenga Ffe abaana kinnoomu, ku lw‟ekisa kyo Yozefu Kitaffe, kati tukusenga Tukwewadde leero mu kwagala kwo. x2 |
4. | 4. Walumbe ng‟atuuse, Yozefu tubeere Tujune, tutaase nga tuzirika Otwale abalonde mu ssanyu ejjereere Mu kwesiima naawe emirembe gyonna! x2 |
By: |