Indirimbo ya 354 mu CATHOLIC LUGANDA
354. MALAYIKA OMUKUUMI
1. | 1. Malayika, ali nange, Ye Ddunda eyakumpa onkuumenga, Ontaasanga abannumba, Ennaku zonna beera nange. |
2. | 2. Tuba ffenna yonna gye mba, Ng‟omujulirwa eri Omukama, Nze bye nkola, ne bye nngamba, Byanjule mu maaso ge biibyo. |
3. | 5. Tova we ndi, ku ssaawa eyo, Walumbe bw‟aliba ankankanya, Byonna ku olwo, mbikwasa ggwe, N‟okumpolereza eri Yezu. |
4. | 3. Sirwa nngenda, mu bwangu anti, Ensi embonyaabonya lutata, Tonvangako, Ggwe ow‟amaanyi, Bwe mba naawe nze siitye nnaku. |
5. | 4. Nsaba kino, mu nngendo eyo Jangu omperekere ontaasenga, Galunngamye, gonna agange, Ntuusanga mirembe eka ewaffe. |
By: W.F. |