Indirimbo ya 355 mu CATHOLIC LUGANDA
355. MALAYIKA WANGE NKWEBAZA
1. | 1. Malayika wange nkwebaza Ku lw‟okunkuuma okuva edda; Ndi mwana wo omuwereke, Musaale wange, nkwesize. |
2. | 2. Katonda bwe yanteekawo Ku nsi ne mu mikono gyo, Wanfuula omwana wo nzenna N‟onkuuma era n‟onjagala, |
3. | 5. Mukwano gwange omwesigwa Tondeka mu kusomoka, Ontakabanire nnyini Nga ntuuse eri Omulamuzi. |
4. | 3. Bwe mpummula mu bw’ekiro Ku buliri ggwe obeerawo N‟ontaasa mu kabi konna N‟onngumya mu kukemebwa. |
5. | 4. Bwe nnyonoona olw‟ekitigi Nga nkyamidde mu kkubo ebbi; Ggwe onkyamula n‟ekisa kyo N‟onfunira ekisonyiwo. |
By: M.H. |