Indirimbo ya 357 mu CATHOLIC LUGANDA
357. SSEBO OMUKUUMI GWE
1. | MPEREKERWA (M.H.) 1. Ssebo omukuumi gwe mperekerwa, Wulira omwana akuwanjagira! Mbuliddwa ekkubo, nga ndebettuse, Ntiisibwa, obudde bunzibiridde, Ssebo, ayi Ssebo, nziruukirira, Tondeka ttayo, nkwesengereza! |
2. | 2. Ayi Ggwe omusaale omulungi, jangu! Samba oluwenda olundaga eggulu; Tangaaza ekkubo, limbuze ekiro Nneewala enkonko, zintiisizza nnyo; Nsomosa omugga awatali kabi, Ntuusa bulungi emitala w‟eri. |
3. | 3. Awo nga ntuuse ku nju y‟eggulu Koona ku luggi lwa Nnannyinimu. Yingira nange, tugende ffembi, Nneme kwekanga nga ntuuse gy‟ali. Woza bulungi, nga nnamulibwa, Ntebenkerenga emirembe gyonna. |
By: |