Indirimbo ya 359 mu CATHOLIC LUGANDA
359. MARIA TEREZA AJUNA ABANAKU
1. | (Sebastiane Musoke) Ekidd. Maria Tereza Ledochowska, ajuna abanaku n’obafunyisa essanyu, Tuyambe Nnyabo, tukulembere otutuuse eri Yezu Omulokozi waffe. |
2. | 1. Walumirwanga nnyo ababonaabona, Ng‟olwanyisa obuddu obwali mu nsi muno, Nga bakuwakanya tewaterebuka, Ng‟oweereza Yezu n‟omutima ogumu. |
3. | 2. Wayagalanga nnyo okubunya Evanjili, Wano mu Africa era n‟ensi yonna, Amawulire mangi agakwata ku ddiini, Gasaasaanidde ensi mu mpenda ze watema. |
4. | 3. Weesammula ebyensi n‟osenga eri Yezu, Obugagga n‟obwami wabisuula bbali, Wasiima obutume, osaasaanye eddiini, Onyweze Eklezia mu nsi ya Africa. |
5. | 4. Watunda n‟ebintu byo lwa kwagala Yezu, Ng‟oyagala abantu bamanye amazima, Tusabire naffe tuyagale Yezu, Tunywerere gy‟ali tutuuke mu Ggulu. |
By: |