Indirimbo ya 360 mu CATHOLIC LUGANDA
360. TEREZA LEDOCHOWSKA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Ledochowska (Omutuukirivu) Omwesiimi Katonda yakuyamba N’oba wuwe, n’akuwa okole by’akutuma, abantu bamumanyenga. |
2. | 1. Olw‟obunyiikivu obw‟ekitalo yakuyamba oyo Katonda, N‟osobola okulwanirira abanaku n‟abadooba. |
3. | 2. Olw‟obunyiikivu n‟obuzira yakuyamba oyo Katonda, N‟osobola okulangirira Amawulire Agasanyusa. |
4. | 3. Olw‟obunyiikivu n‟obuzira wamwagala oyo Katonda, Ne weerekereza by‟olina olw‟okulokola abalala. |
5. | 4. Tuyambe tube abazira okugoberera ebyo by‟oyigiriza, Tunywezenga amateeka agalunngamya omuntu. |
6. | 5. Katonda oyo ow‟ekitalo asaanira kutenda obutoosa, Eyatuwa mu ggwe ekkubo ly‟Obutuukirivu. |
By: |