Indirimbo ya 361 mu CATHOLIC LUGANDA
361. TEREZA OMUTO OWA YEZU
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Tereza omuto owa Yezu Ka tumusabe Ka tumusabe akole ebyo bye yasuubiza Atutuuse mu ggulu. x2 |
2. | 1. Anti obuto mu mwoyo, ke kakubo k‟oyigiriza Okwesiga Omukama Kitaffe nnyini-bulamu. x2 |
3. | 2. Ayi Tereza gwe ngoberera nange nkusaba Nkufaanane mu mpisa zo: i. Amasanyu agasikiriza: Ng‟ago ngagoba ii. Omukemi siimukkirize: Ng‟oyo ngoba iii. Eddiini gye ndimu kati: Nga nnyiikira iv. Omukama by‟anjagaliza: Nga mbyagala v. Nga nsanze ebinnyigiriza: Ng‟olwo nnguma vi. Akakubo k‟ondagirira: Nga mpondera vii. Bwe ntuuka we nnemererwa: Ng‟oyambako Omutima gwange ngusse ku Mukama. |
By: |