Indirimbo ya 362 mu CATHOLIC LUGANDA

362. TEREZA OW’OMWANA YEZU


Ekidd:
: Tereza ow’Omwana Yezu.
1. Tereza Omutuukirivu
Tuzze gy‟oli
Tusabirenga eri Yezu,
Ffe ab‟oku nsi.
1.2. Ku lunaku lwa Batismu
Wasingirwa
Maria Omutuukirivu
N‟akukuuma.
2.3. Mu buto bwo bakadde bo
Baanyiikira
Okukuyigiriza ennyo
Okwekuuma.
3.4. Ng‟owezezza emyaka esatu
N‟olagaana
Okutuukiriza Yezu
By‟akusaba.
4.5. Weegomba nnyo okufuna
Omukama
Yezu n‟ajja mu mwoyo gwo
Ng‟asiimye nnyo.
By: W.F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 362 mu Catholic luganda