Indirimbo ya 364 mu CATHOLIC LUGANDA
364. SISTER ULRIKA
1. | Kristu atugamba … Tukwate ekkubo ly‟obutuukirivu erirokola Atugamba …… Buli awatanya awonye obulamu bwe oyo tafuna! Atugamba …… Naye alibuwaayo ku lwange alibusanga. Kigasa ki okulya ensi eno n‟ozikirira n‟oggwaawo? Kigasa ki okulya ensi eno omwoyo gwo n‟oguzisa? Atugamba …… Angoberera akwate Omusaalaba ajje Atugamba …….Yeveemu n‟obulamu oyo abuweeyo. Ulrika tuwe okumanya, Ulrika tuwe okumanya Ebigambo byo bye wakwata n‟olokoka. Sister Ulrika Tusabire Ulrika abaana bo Tusabire Tusabire Ulrika abaana bo Ggwe eyeewaayo obuteddiza Ne weemaliza Omukama Kristu N‟ogoberera oyo Kristu N‟obagalira otyo Omusaalaba N‟obulamu wabumuwa Kristu Wamwagala nnyo Yezu Tumwagale Wamwemaliza Omukama Tumwagala Ffe abaana bo tutuuno Tusabire Situlina buwonero Tusabire Twagaze nnyo Yezu Tuleme okugudduka Omusaalaba Tufube okutuuka Gy‟oli Mu ggulu ew‟Omukama Twesiime twesiime twesiime naawe. |
By: Fr. Expedito Magembe |