Indirimbo ya 367 mu CATHOLIC LUGANDA
367. AMAKUNGULA NGA MANGI!
1. | (Fr. Expedito Magembe) A -( i ) Laba abantu balinga endiga ezitalina musumba MUSABE KITANGE ASINDIKE ABASUMBA ASINDIKE ABAKOZI BANGI ABANAAMALA. (ii) Laba amakungula mangi bulala tewali bakunguzi (iii)Laba abantu bankwasa ekisa balinga endiga ezitalina musumba. |
2. | B -a Amakungula mangi naye abakunguzi tewali Tiwali tiwali tiwali bakunguzi, abakozi tiwali mu makungula. b. Ennimiro nnene naye amakungula mazibu Mazibu mazibu mazibu amakungula, abakozi tiwali mu makungula. c. Endiga ddala nnyingi naye abasumba tibamala Tibamala tibamala tibamala abasumba, abakozi tiwali mu makungula. d. Omulimu munene abakozi tibamala Tibamala tibamala tibamala abakunguzi, abakozi tiwali mu makungula. |
3. | C-Tumusabe omuzadde AWEEREZE ABAKOZI MU NNIMIRO Mukama ……………….. ATUWE ABAKOZI ABANAAMALA Tumusabe Kitaffe Mukama ,, ,, Tumusabe atuyambe Mukama ,, ,, Atuwe abakozi AWEEREZE ABAKOZI MU NNIMIRO Mukama ……………….. ATUWE ABAKOZI ABANAAMALA Asindike abakozi Mukama ,, ,, Tumusabe omuyinza Mukama ,, ,, Tumusabe atuwe ffe Mukama ,, ,, Tumusabe oyo Mukama ,, ,, Tumweyune oyo Mukama ,, ,, Oyo atuyamba Mukama ,, ,, Oyo atulunda Mukama ,, ,, |
By: |