Indirimbo ya 369 mu CATHOLIC LUGANDA
369. EMPEERA Y’ABAGOBERERA
1. | KRISTU(Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Bw’omwewa Omukama, ne weemaliza Omukama Talikujuza Omukama oyo, talikujuza emirembe. 1. Abamugoberera ….Talibajuza emirembe Talibajuza ………….Yabasuubiza okubaweera mu nsi muno ne gye bujja. |
2. | 2. Entalo zo alizirwana, obulamu bwo alibukuuma, Talikujuza emirembe, Aliba wuwo Omukama, aliba wuwo, naawe olibeera eyo, eyo mu ggulu. x2 i Buli eyeevamu n‟amugoberera alimuwa – empeera ii Buli eyeeresa ebyensi eno alimuwa – empeera iii Buli alireka n‟abazadde alimuwa – empeera iv Buli alireka n‟emikwano alimuwa – empeera v Buli alireka n‟abaana alimuwa – empeera. |
3. | 1. Olifuna kikumi ku nsi kuno ne gye bujja, oligabana, Ku mpeera y‟abalungi emirembe. 2. Olifuna kikumi ku nsi kuno ne gye bujja, oligabana, Ku mpeera y‟abanyiikira obutoosa. |
4. | 3. Olifuna kikumi ku nsi kuno ne gye bujja, oligabana, Ku mpeera y‟abalwana abazira. N‟omusalaba olifuna – n‟obonaabona N‟obonaabona ku lulwe – olwa Kristu N‟ebizibu olifuna – ogumanga Ne weewaayo ku lulwe – eyakuganza //Osaana onywerere ggwe – ku Katonda Omusaalaba togutya – gwe gulokola.// x2 Omukama Yezu alikuwa, alikuwa empeera ng‟omusenze. Omukama Yezu alikuwa, alikuwa empeera ng‟onywedde. Omukama Yezu alikuwa, alikuwa empeera bw‟omwewa. Kwata ekkubo ery‟akanyigo, kwata ekkubo era effunda Nywera ssebo, ggwe toddirira. Alikutwala obeere waggulu eri, waggulu awaladde ng‟omuli ku gwa ddyo. Ddunda alikuwa empeera, …….. alikuwa, Ddunda alikuwa empeera …….. alikuwa, Alikuwa, empeera. |
By: |