Indirimbo ya 373 mu CATHOLIC LUGANDA
373. JANGU MUGOLE WA YEZU
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Jangu, jangu, jangu mugole wa Yezu omwagalwa, Jangu, jangu, jangu otikkirwe engule yo. Kwako engule yo, Mukama Katonda gye yategeka, Ebe yiyo emirembe x2 n’emirembe. |
2. | 1. Ddala ddala Mukama akwagala, Ddala ddala Mukama akwagala nnyo ggwe omuzaana we; Wulira agamba: “Nnakulondamu tonnazaalibwa, Mu lubuto lwa nnyoko wo ng‟omwoyo guli ku ggwe”. Jangu otikkirwe engule yo, Jangu otikkirwe engule yo. x2 |
3. | 2. Ddala ddala Mukama akwagala, Ddala ddala Mukama akwagala nnyo ggwe omuzaana we; Wulira agamba: “Nnakulondamu sijja kwenenya, Nze nnasalawo nkutume, osomese amawanga”. Jangu otikkirwe engule yo, Jangu otikkirwe engule yo. x2 |
4. | 3. “Mpa omutima gwo, mpa omutima gwo gwonna, Leeta by‟olina, tunda by‟olina byonna, Naabikuwa emirundi kikumi, N‟obulamu obw‟olubeerera, Ndayidde onoobufuna”. |
5. | 4. “Nzuuno gw‟oyise, nzuuno gw‟oyise ntuuse, Okuva kati Ddunda, Ggwe Katonda wange, Ggwe muganzi wange, nzenna nkwewadde, Nzenna nkwewadde nze ndi wuwo”. |
By: |