Indirimbo ya 374 mu CATHOLIC LUGANDA
374. KATONDA Y’ALONDA
Ekidd: | |
: Mu busaserdooti – Katonda y’alonda Mu busaserdooti – Katonda y’atuyita Mu busaserdooti – Katonda y’alonda Ye gw’asiimye, ye gw’ayagala, gw’alonda. | |
1. | 1. Naye atubuuza obanga tukkiriza -ddala ddala era atubuuza tawaliriza n‟omu Tawaliriza ……………….. Tawaliriza n‟omu. // x2 Ani gwe nnaatuma agende ng‟alangirira Ani gwe nnaatuma akulembere abantu bange abo nze nnaatuma ani? Ekidd.: //Nzuuno ntuuse Mukama wange nze, NTUMA Nzuuno, ntuma nze, gw’olonze.// x2 Nze nnaatuma ani, nze nnaatuma ani, nze nnaatuma ani, abeere omubaka wange? Nze nnaatuma ani, nze nnaatuma ani, mbuuza abange, nze nnaatuma ani? Ekidd.: //Nzuuno ntuuse Mukama wange nze, NTUMA Nzuuno, ntuma nze, gw’olonze.// x2 |
2. | 2. Buli eyeewaayo ye wange – gwe nnoonya Buli eyeevaamu gwe nsiima – gwe nnonda Okwagala okubeera owange – kwa bonna Kyokka abeevaamu ba munyoto – ba munguuba Abansenga be bangi – buli wantu Abannywererako ba lubatu – batono ddala. Ani gwe nnaatuma ani, agende ng‟alangirira Ani gwe nnaatuma akulembere abantu bange abo nze nnaatuma ani? Ekidd.: //Nzuuno ntuuse Mukama wange nze, NTUMA Nzuuno, ntuma nze, gw’olonze.// x2 |
3. | 3. Laba mmalirira Mukama wange nneevuddemu, naawe ng‟onnyambye nneewaddeyo. Nze mmalirira Mukama wange nkulagaanya, nzuuno nze nkwewa ndi wa lubeerera. Ebyo ebizibu Mukama wange ebirijja, sigenda kunyeenya nneewaddeyo. Nze mmalirira Mukama wange nneevuddemu, nzuuno mmaliridde nze ndi wuwo. Mu busaserdooti …………………. |
4. | 4. Mwoyo ow‟amaanyi nze gwe nkuwa, era n‟omukono gwange nga gukugumya Genda okulembere abantu bange. Ekidd.: //Nzuuno ntuuse Mukama wange nze, – NTUMA Nzuuno, ntuma nze, gw’olonze.// x2 Osiigiddwa ggwe n‟oyawulwa, oli kabona wange ggwe nnonze. Genda olangirire Ekigambo kyange. Oli Musaserdooti olubeerera, sigenda kwejjusa era nkirayira Genda olambike abantu bange. Oli Musaserdooti wa mirembe – nga Melekisedeki ow‟emirembe. Genda okuluusane muganzi wange. |
5. | 5. Ebitambiro ebyokye tewabyagala – Laba nzuuno nze ka nkole by‟osiima by‟oteesa. x2 |
6. | 6. Laba mmalirira Mukama wange nneevuddemu, naawe ng‟onnyambye nneewaddeyo. Nze mmalirira Mukama wange nkulagaanya, nzuuno nze nkwewa ndi wa lubeerera. Ebyo ebizibu Mukama wange ebirijja, sigenda kunyeenya nneewaddeyo. Nze mmalirira Mukama wange nneevuddemu, nzuuno mmaliridde nze ndi wuwo. Mu busaserdooti …………………. N.B.: Mu kifo kya “Mu Busaserdooti” oyinza okweyambisa “Mu Bunnaddiini” Bw’omala No. 4, obunyiriri obubiri obusooka, weeyambise bino wammanga: Oli Mutume wange gwe nnonze, sigenda kwejjusa era nkirayira Genda osaasaanye Ekigambo kyange. Laba ebikungulwa bya kitalo, kyokka abakungula leero ndibaggya wa? Ggwe genda okuluusane, muganzi wange. Nnyini bikungulwa wa kusaba, aleete abakungula leero abanaamala Genda olangirire Ekigambo kyange. |
By: Fr. Expedito Magembe |