Indirimbo ya 375 mu CATHOLIC LUGANDA

375. MUNAAYITIBWANGA


Ekidd:
: Munaayitibwanga Basaserdooti luse lulondobe,
Eggwanga lya Katonda, abantu ba Katonda n’obwebange
Ab’obwebange, ab’obwebange, ab’obwebange
Bantu ba Katonda ab’obwebange.
Mwagattibwa ne Kristu Omusaserdooti,
Ne musiigibwa ne Chrisma n’abajjula,
Mwoyo wa Katonda n’abatukuza,
Muli basaserdooti, ggwanga nnamukisa, ery’abalondemu.
1.1. Katonda yagamba nti; Ggwe oli mwana wange,
Kristu olwaleero nkuzadde, ndibeera Kitaawo n‟oba mwana wange,
Oli Kabona ow‟olubeerera”.
Ennyumba ye be baffe, tuli baana, kasita tusigala nga tunywedde mu ssuubi
lino erisanyusa.
2.2. Omulimo gw‟omusaserdooti kwe kuweereza ebirabo n‟Ebitambiro ewa
Katonda
Ebitambiro ebyokye tebyakusanyusa Ggwe Kitange.
Nzuuno nzize, nzuuno nzize okukola ky‟oyagala
Nzuuno nzize, nze Kristu Omwana wo
Ennyumba ye be ba ffe tuli baana
Kasita tusigala nga tunywedde, mu ssuubi lino erisanyusa.
3.3. Kati Kabona ow‟okuleeta ebiggya yatuuka dda,
Yayingira lumu mu Kitukuvu, ku lwa bonna
Omusaayi gwe yatambira, gwe gugwe ddala,
Omusaayi gwe Kristu gwe yatambira,
N‟atufunira ennunuza ey‟olubeerera,
Ebitundu bye be ba ffe, tuli baana,
Kasita tusigala nga tunywedde, mu ssuubi lino erisanyusa.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 375 mu Catholic luganda