Indirimbo ya 376 mu CATHOLIC LUGANDA
376. MPA OKULWANIRIRA
1. | KY’ONKUUMIDDE (Fr. Expedito Magembe) A Ekidd.: Mpa okulwanirira ky’onkuumidde okuva obuto bwange, Nyweza ky’onkuumidde okuva obuto bwange. |
2. | 1. Wanjagala Mukama wange nga nkyali mu lubuto lwa maama, N‟onnonda nze n‟onjawula, mbeere wuwo nzenna. |
3. | 2. Wankuuma Mukama wange ng‟oli bw‟akuuma eriiso lye, N‟onkuuma obuto bwange n‟obulamu bwange. |
4. | 3. Wampa mu mutima gwange omuliro ogwaka ekitalo, Okwagala okwo kumpujja, nsaba okukuumenga. |
5. | 4. Okuva obuto Mukama wange nnakwagala obutamala, Njagala nkwekuumire Mukama wange emirembe n‟emirembe. |
6. | 5. Nkuume ettawaaza y‟obutuukirivu Mukama wange ng‟eyaka, Mu butukuvu n‟obuwulize nga ndi wuwo. OKUKWEMALIZA KYE KIRABO KYANGE |
7. | B. Ekidd.: Okukwemaliza kye kirabo kyange kye nkuwadde Okukwemaliza kye kirabo kyange mu maaso go Okukwemaliza kye kirabo kyange ekisinga Ggwe Katonda wange, muganzi wange nkulagaanya Obutukuvu, obubeererevu bwe nkuwadde Emibiri gyaffe obulamu bwaffe ebyo birabo byo. Ebirabo ebirala Katonda waffe bya munguuba. TUYAMBE FFENNA MIKWANO GYO |
8. | C Ekidd.: Tuyambe ffenna mikwano gyo baganzi bo otuyambanga. |
9. | 1. Tuyambe ffenna mikwano gyo baganzi bo otukuumanga. |
10. | 2. Ku nsi bye tulina twabireka, essanyu lyaffe ye Ggwe Mukama. |
11. | 3. Ku nsi kuno twafuuka bafu, olw‟okubeera obwakabaka bwo. |
12. | 4. Mu Ggwe byonna tubisobola titulemwa ng‟otukwatirako. |
13. | 5. Obwomuntu obwesiga kitono, amaanyi gaffe ye Ggwe Mukama. |
14. | 6. Obwomuntu obwesiga kitono, Mukama waffe otuyambanga. MUKAMA WAFFE FFE B’OLONZE |
15. | D Mukama waffe ffe b‟olonze – Ab‟okukolanga mu nnimiro Tuwe okukolanga mu nnimiro – N‟omutima omwetowaze Tuwe okukola nga sitweganya – Tukuleetere amakungula Tubeere abakozi abakusanyusa- Mukama waffe ab‟emyoyo Tubalirwe mu abo abeetegese – Abakulindirira lw‟olijja Ettawaaza zaffe zaake nnyo – N‟omuzigo ogugenderako Mukama waffe nno lw‟olijja – Ne batugamba nti otuuse kiro Leero nno ffe abeetegese – Mukama waffe olitusanga eri Tubeere mu abo abalisooka – Abaligenda okwaniriza Ng‟otuuse bw‟oti amazima – Mukama waffe tulisanyuka nnyo. MU BWAKABAKA TULISANYUKA NNYO |
16. | E Emirembe n‟emirembe nga tuyimba – Amiina Tulisanyuka nnyo ,, Nga tuwangudde ,, Tuliyimba nnyo ,, Nga tuwangudde ,, Tulibeera eri ,, Nga tuwangudde ,, Tulisanyuka nnyo ,, Tulitenngeenya ,, |
By: |