Indirimbo ya 377 mu CATHOLIC LUGANDA
377. NDITENDEREZA OMUKAMA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Nditendereza Omukama oyo by‟atukoledde n‟omukwano gwe nze ndiguyimba emirembe, emirembe, emirembe; ndirangirira wonna ndigutenda omukwano gw‟Omukama gwa mirembe tigukyuka. Ndirangirira obulamu bwonna – by‟atukoledde Katonda waffe – by‟atukoledde. Yatuwa okwagala okw‟omutima gwonna- yatuganza nnyo Katonda owaffe – yatuganza nnyo Yamanya obutene bw‟emitima gyaffe – n‟atuddiramu Katonda owaffe – musaasizi. Ka ntende mbabuulire by’atukoledde ffe abaana be mikwano gye by’atukoledde. Yatuyitayo ewaffe n’atuleeta, tubeere babe baganzi be mikwano gye Tiyeenenya yatuyita yatulondamu tuli babe talyejjusa yakimala N‟atuteeka w‟ali mu weema ye n‟atujjuza buli kalungi atwagala. Entalo zaffe azirwanye nnyo, obulamu bwaffe abukuumye nnyo. Emyaka leero giyise nnyo, nga Katonda waffe atuwanirira, Ffenna tugambe nti atwagala, oyo Katonda waffe Nnantalemwa. Ffenna tuyimbe ettendo lye oyo Katonda waffe atuwanguza. Tulezeeko – Tulezeeko essanyu ly‟Omukama bwe libeera Tulezeeko – Tulezeeko omukwano gw‟Omukama guwooma nnyo Twerabiddeko – Twerabiddeko, Katonda omulungi bw‟alokola Tuyize nnyo – Tuyize nnyo ebyama by‟Omukama eby‟Omutima gwe Katonda oli – Katonda oli asula mu ffe tuli naye. A Tuwera kimu ffe okwagala n‟obuzira Mukama waffe oyo gwe tumanyi. Tuwera kimu ffe okuwondera n‟obuzira Kristu eyatuganza tubeere babe. Tuwera kimu ffe kumalirira titukyaddirira, emirembe n‟emirembe tuli babe – Mikwano gye. |
By: |