Indirimbo ya 378 mu CATHOLIC LUGANDA
378. NJAGALA NZE
1. | Sop: Njagala nze, njagala kimu nze, okubeera mu Nnyumba y‟Omukama emirembe, emirembe, emirembe, mpulire obuwoomi bw‟Omukama: Nneerolere nneerolere Ekiggwa kye Bass: Mu Weema ye Entukuvu Sop: Nneerolere, nneerolere Ekiggwa kye Bass: Mu Weema ye Sop: Mu Weema ye Entukuvu, nkutambirire ebitambiro eby‟okujaguza, n‟entongooli zikuvugire Mukama wange Bass: Nja kuyimba Sop: Nja kuyimba obutamala Bass: Nja kuyimba Sop: Nja kuyimba Sop.& Bass: Nja kuyimba, nja kuyimba, Ggwe Mukama wange Sop: Omutima gwange Bass: Gukugamba Sop: Amaaso gange Bass: Gakunoonya Sop.& Bass: Ayi Mukama nnoonya amaaso go, tonkweka maaso go Nze omuddu wo, tongobaganya, tonjabulira Sop: Ababi bwe bannumba abalabe bange ababi bwe bannumba okunzita Bass: Bawanattuka ne bagwa, bawanattuka ne bagwa Sop: Eggye bwe linnumba okunzita, eggye bwe linnumba okunzita Bass: Bawanattuka ne bagwa, bawanattuka ne bagwa. Ggwe bulokofu bwange, ayi Mukama. Ggwe kigo ekinywevu eky‟obulamu bwange -Nnaatya ki? Nnaatya ki? Ani nze gwe nnaatya? Ne bwe njabulirwa Taata ne Maama, kasita Omukama antutte, tanjabulira, ampanguza. Tonjabulira ayi Mukama, tonsuula ayi Mukama, nnindirira Omukama alijja, Nzikiriza ate nga ndiraba ebirungi by‟Omukama mu nsi y‟abalamu. |
By: Fr. James Kabuye |