Indirimbo ya 379 mu CATHOLIC LUGANDA
379. NKUYITA MWANA WANGE
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Nkuyita Mwana (muwala) wange weeveemu ojje onsenge Nze Mukama Katonda wo akuyita nkulonzeemu Tunda byonna, leeta byonna, vva mu byonna, Osange byonna onoobula ki? Nze nsibuko ya byonna //Mpa omutima gwo mwana (muwala) wange nkwegombye Mpa obulamu bwo mwana (muwala) wange olibusanga.// x2 |
2. | 1. Nkusuubiza mukwano ogw‟olubeerera, Nkusuubiza buyambi obw‟enjawulo, Nkusuubiza bizibu gwe Musaalaba, Gwe nneetikka ku lwange, beera muzira Ndi naawe, Nze ndi naawe nkuwanirira. |
3. | 2. Nkusuubiza bugagga obw‟olubeerera, Nkusuubiza obuganzi ew‟Omukama, Nkusuubiza mirembe nga nkuwa essanyu Beera muzira ndi naawe, Nze ndi naawe nkuwanirira. |
4. | 3. Nkusuubiza bulamu obw‟olubeerera, Nkusuubiza omugabo ogw‟enjawulo Nkusuubiza Mwoyo Mutukuvu ow‟amaanyi akuyambe Beera muzira ndi naawe, Nze ndi naawe nkuwanirira. |
5. | 4. Nkusuubiza bulamu obw‟olubeerera, Nkusuubiza olituuka ew‟Omukama, Nkusuubiza entebe yo ng‟omaze ennaku ewa Taata mu kitiibwa. Beera muzira ndi naawe, Nze ndi naawe nkuwanirira. |
By: |