Indirimbo ya 382 mu CATHOLIC LUGANDA

382. NZUUNO NTUMA


1.1. Yanguwa jangu x3 Mukama Katonda nze nkuyita jangu.
Ekidd. Nzuuno ntuma x3 ntuuse nzuuno ntuma.
2.2. Ssembera jangu x3 Mukama Katonda nze nkuyita jangu.
3.3. Weebaze leero x3 Mukama Katonda nze nkuyita leero.
4.4. a) Ojja kuva mu bantu bo, ojja kuva mu bantu bo beera muzira.
Ekidd:
: Nneevuddemu, nneevuddemu okukola ky’oyagala
Mukama Katonda,
Ne bw’onoosaba obulamu nze nnaabuwaayo olw’okuba
Ggwe.
b) Ojja kuba n‟Evanjili, ojja kuba n‟Evanjili yiino gye nkuwa.
c) Empisa zo n‟Evanjili, empisa zo n‟Evanjili bikuwanguza.
d) Obuzira n‟obwenkanya, obuzira n‟obwenkanya byo tobireka.
e) Ng‟osomesa b‟onoolaba, ng‟osomesa b‟onoolaba nyweza amazima.
f) Ebizibu by‟onoolaba, ebizibu tobyewala beera muzira.
g) Addirira tansaanira, omunafu tansaanira beera muzira.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 382 mu Catholic luganda