Indirimbo ya 383 mu CATHOLIC LUGANDA
383. OLI MUSASERDOOTI
Ekidd: | |
: Bass: Oli Musaserdooti emirembe gyonna. Sop: Mu lubu olwa Melekisedeki emirembe. x2 Bass: Oli Musaserdooti ….. (chor) Mirembe gyonna. x3 Tutti: Musaserdooti emirembe gyonna Mu lubu olwa Melekisedeki Mirembe gyonna, emirembe gyonna. Sop: Mu lubu olwa Melekisedeki Tutti: Mirembe gyonna, emirembe gyonna. Sop: Ndayidde sigenda kwejjusa…. Bass: Oli Musaserdooti x4 Sop: Oli Kabona aweereza Katonda, Ebitambiro n’ebitone ebimusanyusa. Bass: Kabona waffe….. Sop: Oli Kabona Ddala oli Kabona. Sop: Ggwe agatta Katonda n’abantu, Tutti: Oli Kabona, oli Kabona Sop: Ggwe Kristu alabika Tutti: Oli Kabona, oli Kabona. | |
1. | 1. Sikyabayita baddu wabula mikwano gyange enfiirabulago Byonna bye nnaggya ewa Kitange nange nnabibamanyisa, Musigalenga mu mukwano gwange, muli bange ba ndagaano ey‟olubeerera, Endagaano yange ey‟olubeerera, tegenda kudiba ya mirembe gyonna. |
2. | 2. Nnabalondamu muli bange, muli bange ba ndagaano Mbasiize n‟omuzigo ogw‟essanyu muli basiige bange be nnonzeemu Mwoyo Mutukuvu ababeeremu n‟obuyinza bwe Mulangirire Evanjili mu bitonde byonna, Munaababuulira okukwata bye nngamba. Mubatukuzanga masakramentu gonna nga mugabawa Mubaweerezenga timwebalira mukolenga kye njagala Mweveemu mbayise, mweveemu mbayise mweveemu mbayise leero x2 mwenna. |
3. | 3. Sirikuleka mukwano gwange bw‟olikwata bye nngamba, ssirikuleka Siridibaga ndagaano yange, sirimenyawo nze bye nnayogera Nnalayira lumu sikwenyakwenya sirikuleka. Sirikuggyako mukwano gwange nnalayira. Bw‟olikwata bye nngamba omukwano gwange gulikubeerako. |
By: Fr. James Kabuye |