Indirimbo ya 385 mu CATHOLIC LUGANDA
385. TUMAZE EBBANGA
1. | Tumaze emyaka, (ebbanga) Tumaze Nga tuli wamu naawe Naawe Katonda Tumaze emyaka (ebbanga), abiri mu etaano (tumaze) Nga tuli wamu naawe mu nnyumba yo, mu weema yo mwe watussa ffe. |
2. | 1. Ggwe atukuumye n‟otunyweza mu bunnaddiini: Tukwebaza nnyo Ggwe atuyambye n‟otunyweza buli kaseera Tukwekola nnyo Ffe okunywera mu busenze eyo nneema Gye twekola Nneema Gye twekola Nneema Gye twekola ffe Ggwe watuyita Tujje Ggwe watuyita Tujje gy‟oli Ggwe watuyita Tujje tukugoberere Mu bwavu, mu butukuvu ne mu buwulize. |
3. | 2. Watugamba okuleka byonna Twabireka N‟otugamba okwevaamu Ne twevaamu Watugamba tubagalire emisaalaba Buli kakedde N‟otugamba okwevaamu Ne twevaamu. Twaleka byonna Twalonda Ggwe Katonda Twaleka byonna Ne tukusenga Twaleka byonna N‟otusiima Ggwe Katonda Twaleka byonna N‟otulonda N‟otusiima, n‟otulonda, n‟otuyita mu busenze bwo, tubeere babo emirembe. x2 |
4. | 3. Tuli bagole gy‟oli Baganzi Mikwano gyo Mukama Katonda Watulondamu Mukama Ng‟osiima Tiweenenya walayira Wakimala Waggya mu kisa kyo Ggwe Ng‟osiima N‟otusembeza w‟oli Tube babo. Ffe bimuli bya Roza by‟olina, tukuume tunyweze mu mukwano gwo Mukama. Ffe bimuli bya Roza by‟olina, tuyambe endagaano tuginyweze Mukama. Ffe bimuli bya Roza by‟olina Ffe ttawaaza z‟okoleeza okwakira abantu Bakulabe, bakumanye, bakwagale, babeere babo. |
By: Fr. Expedito Magembe |