Indirimbo ya 386 mu CATHOLIC LUGANDA
386. SINGA OMUKAMA TIYALI NAFFE
1. | (Fr. Expedito Magembe) Singa Omukama teyali naffe twandibuze, Twandibuze, twandibuze ffenna ne tuggwaawo: Singa Omukama teyali naffe banditumize, Banditumize ffenna ne tuggwaawo. |
2. | 1. Yatuwonya enzikiza ekutte, yonna eyo ne tugivaamu Yatuwonya ebingi ebizibu, byonna ebyo ne tubivaamu Yatuwonya ebingi ebigezo, byonna ebyo ne tubivaamu Lwe baali bwaswakidde, bonna abo Omukama n‟awugula. Singa Omukama teyali naffe ……………… |
3. | 2. Nzijukira emyaka emizibu, nzijukira ebiseera ebizibu Nzijukira amaanyi amatono, nzijukira obulamu obuzito Nzijukira ebingi ebirema, nzijukira olutalo oluzibu. x2 Singa Omukama teyali naffe ……………… |
4. | 3. Tiyampaayo …. Lwe baali bannoonya Tiyanvaamu …… Lwe gwali gunsinze Tiyansuula ……. Lwe baali bandeese Tiyegaana ……. Ffe abamukoowoola. x2 Ndimuwa ki nze eyanjagala era n‟ambiita, ndimuwa ki okumwebaza oli? Ndimuwa ki nze eyanzibira era n‟ankuuma, ndimuwa ki okumwebaza oli? Ndimuwa ki nze eyannwanirira …. Ddunda, ndimuwa ki okumwebaza oli? KYE NVA NTENDA: KATONDA OLI EYANNGANZA ASAANA KUTENDWA KATONDA OLI NNANTALEMWA. x2 |
5. | 1. Amaanyi ampadde nnwanye nnyo nze mmwebazaAsaana kutendwa Katonda oli Nnantalemwa Eyansenza oyo n‟andeeta nze mmwebaza. ,, Eyannonda oyo ne mba wuwe nze mmwebaza ,, Ankuunye bw‟ati ndimwebaza ntya Katonda wange? ,, KYE NVA NTENDA: KATONDA OLI EYANNGANZA ASAANA KUTENDWA KATONDA OLI NNANTALEMWA. x2 |
6. | 2. Obweyamo bwange kwe kulonda oyo nno oyo annonze Obweyamo bwange kwe kubeera n‟oyo oyo anneewadde Obweyamo bwange kwe kunywerera ku oyo oyo annywezezza. KYE NVA NTENDA: KATONDA OLI EYANNGANZA ASAANA KUTENDWA KATONDA OLI NNANTALEMWA. x2 Kiriba kiki leero nno ekirinzigya ku Ggwe: Ddunda? – Njagala nnyamba? Ne bw‟aliba walumbe ndyewaayo ne nkufiirira Ne bwe buliba bugagga ndibuwaayo mbeere wuwo Ne bwe giriba mikwano ndyevaamu mbeere wuwo MMALIRIRA MUKAMA NDI WUWO: EMIREMBE, EMIREMBE NZE NDI WUWO |
By: |