Indirimbo ya 388 mu CATHOLIC LUGANDA
388. GGWE MWANA WANGE
1. | 1. Ggwe mwana wange, olwaleero nkutukuzza, Ggwe mwana wange, olwaleero gwe nfunye x2 Nkutukuzza, obeere mwana ansanyusa, obeere mwana emirembe, x2 Anti nkulonze, olwaleero, mu Batismu gy‟ofunye. Ekidd.: Ssirina bigambo, ssirina kirala, Okuggyako Taata okukwebaza, Ssirina mulala, ssirina kirala, Wabula okubeera omwana akusanyusa, Taata (Taata) nga nsiimye nnyo Taata, nneeyanzizza. x2 |
2. | 2. Ggwe mwana wange, nze gwe nnonze nkubatizza, Ggwe mwana wange, nze gwe nzadde gwe mmanyi x2 Oli muggya, kati oli mwana ansanyusa, kati oli mu nze, nze Katonda x2 Anti nkulonze ku lwaleero, lwa kukwagala kwe nnina. |
3. | 3. Ggwe mwana wange, nze gwe nnonze nkusiseeyo, Ggwe mwana wange, nkukyusizza nkwagala x2 Nkutukuzza, obeere wange emirembe, obeere mwana ampulira x2 Kwata bulungi, ebiragiro, ongoberere gye ndaga. |
By: Fr. James Kabuye |