Indirimbo ya 389 mu CATHOLIC LUGANDA
389. KRISTU ABAAMUKKIRIZA
1. | (Fr. Expedito Magembe) 1. Kristu abaamukkiriza amazima, yabawa obuyinza, okufuuka abaana ba Katonda, Bonna abaamwaniriza mazima, yabawa obuyinza, okufuuka abaana ba Katonda. Abo abaakkiriza mu linnya lye, yabawa okuzaalibwa mu Katonda. |
2. | 2. Era bwe kiri – Buli abatizibwa akkiriza Kristu. Era bwe kiri – Buli abatizibwa aba mujulirwa we. Era bwe kiri – Buli abatizibwa ayaniriza Kristu. Era bwe kiri – Buli abatizibwa aba mujulirwa we. |
3. | 3. Afuuka mwana owa Kitaffe, muganda wa Yezu olwa Batismu Afuuka musika owa Kitaffe, muganda wa Yezu olwa Batismu Afuuka musiige ew‟Omukama, muganda wa Yezu olwa Batismu Afuuka mwana ow‟enngoma muganda wa Yezu olwa Batismu. |
4. | 4. Batismu lituyunga, Batismu litugatta x2 Litugatta kinnoomu ne tuba wamu, Lituyunga ku Kristu ne tuba omu, Ne tuba kimu, ne tuba omu. |
5. | 5. Batismu, Batismu, Batismu lituyunga ku Katonda Batismu, Batismu, Batismu lituyunga mu kibiina Mu Batismu, mu Batismu mu Batismu tuzaalibwa mu mwoyo Katonda 6. Tuli baana ba Katonda, – Tuli baana ba Katonda mu Batismu Twakkiriza Kristu Katonda. Tuli baana ba Katonda, – Tuli baana ba Katonda mu Batismu Twayambala Kristu Katonda. Tuli baana ba Katonda, – Tuli baana ba Katonda mu Batismu Twayaniriza Kristu Katonda. Tuli baana ba Katonda, – Tuli baana ba Katonda mu Batismu Twafuuka baana ba Katonda Tuli baana ba Katonda, – Tuli baana ba Katonda mu Batismu Tufaanana Kristu Katonda. Batismu lituyunga …………………… |
By: |