Indirimbo ya 390 mu CATHOLIC LUGANDA
390. KUUMA EBISUUBIZO
Ekidd: | |
: Kuuma ebisuubizo bye wasuubiza Nga obatizibwa Kristu n’omusenga Wamalirira toddirira. | |
1. | 1. Nnyaffe Eklezia akusaba, nywera okule mu kukkiriza. Katonda ani oyo gw‟onoonya? Gwe bataakuwa ku luli nga obatizibwa? 2. Kristu yatugamba twerinde abalanzi ab‟obulimba bali ababuzaabuza; Bakuwa eddiini ennyangu, werinde mwattu ozaawa Bakuwa Kristu omwangu, werinde mwattu ozaawa Bakuwa obugagga obwangu, werinde mwattu ozaawa. 3. Eddiini si byewuunyo, ne sitaani naye abikola nnyo Eddiini si kwesanyusa, ne sitaani naye asanyusa nnyo. 4. Empeera y‟abalungi ekusuba, obanga tofubye tonywedde Empeera y‟abalwana ekusuba, obanga togumye tonywedde Empeera y‟abalungi ekusuba, okusamira kuleke ozaawa Empeera y‟abalwana ekusuba, eddiini ziizo zibuna. |
By: Fr. Expedito Magembe |