Indirimbo ya 391 mu CATHOLIC LUGANDA
391. MU BATISMU
1. | MU BATISMU:- Mwafuuka baana aba Kitange, Katonda wammwe, muli balonde bannamukisa. MU BATISMU:- Mwafuuka bange, mikwano gyange, baganda bange, bitundu bya mubiri gwange munywerere ku nze, mube balamu. |
2. | 1. Temusobola kantu ku bwammwe we ssiri, temusobola nga sibayambye Musigale mu nze, musigale mu nze, musigale mu nze, nange mu mummwe, mube balamu. Nze muzabbibu, nze muzabbibu, mmwe matabi, mmwe matabi Munywerere ku nze, munywerere ku nze, mube balamu Munywerere ku nze, munywerere ku nze, munywerere ku nze. |
3. | 2. Oyo anvaako afuuka mukalu be nngwa, yenna n‟akala n‟aggwaawo Aba ng‟ettabi lye batemye, lye batemye ku muti bwe likala ne liggwaawo Alikwata ebigambo byange n‟abinyweza, aliba mu nze, ne mmubaamu. Ne mmubaamu, ne mmubaamu, ne mmubaamu, ne mmubaamu Ne mmubaamu, ne mmubaamu, ne mmubaamu, ne mmubaamu Ne mmubaamu, ne mmubaamu, ne mmubaamu. |
4. | 3. Nze muzabbibu mumanye muli matabi mmwe, muli matabi mmwe, Munywerere ku nze mufune obulamu, munywerere ku nze, mube balamu, munywerere ku nze mube balamu. |
By: Fr. Expedito Magembe |