Indirimbo ya 392 mu CATHOLIC LUGANDA
392. MUJJE TUKUZE BATISMU
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Mujje, mujje, mujje abaana battu tukuze Batismu ffe abalondemu ffenna Eklezia atudde mujje, mujje tumutende Ddunda: Mujje, mujje twatule abaana ba Katonda wano mu luggya lwe Wano we muzze we wa Taata, mukimanyenga (mukimanyenga) Wano we muzze we wa Nnyammwe Eklezia Katolika, Temudda mabega, mufubenga mube batuufu, Temudda mabega mufubenga mutambule naffe abasoma Taata, Taata, Mwana, Mwana, Mwoyo Mutuukirivu weebale, Atuzadde, atugasse mu kibiina ekinunuddwa. |
2. | 1. Tukwanjulira Ddunda abaana bo bano be tuleese, Wabalondamu Ddunda babeere babo; Tubamanyisizza naffe amakubo go. Ekigambo kyo Taata bakikkiriza. Banyweze mu mukwano gwo Ddunda ne mu kukkiriza. Babeere abajulirwa bo mu nsi muno emirembe. |
3. | 2. Tukwanjulira Ddunda abazadde b‟abaana be tuleese, Kye bakusaba Ddunda kwe kukkiriza, Tubakubirizza Ddunda bakusimbeko, Okubakuza abaana bakikkirizza; Banyweze mu mukwano gwo Ddunda ne mu kukkiriza Babeere bajulirwa bo eri bano abasooka. |
4. | 3. Tukwanjulira Ddunda eggwanga lyo lino egganzi, Wabalondamu Ddunda babeere kimu. Bamulamusizza Kristu ono Omwana wo. Ekigambo kyo Taata bakikkirizza. Banyweze mu mukwano gwo Ddunda ne mu kukkiriza Babeere bajulirwa bo mu nsi muno, emirembe. |
By: |