Indirimbo ya 393 mu CATHOLIC LUGANDA
393. NDI MUSOMI
Ekidd: | |
: Ndi musomi ndi mukristu Mu Eklezia Katolika; Ne njatula nga sirimba, Nga nze ndi mukristu ddala. | |
1. | 1. Edda nnali mu busiru Sitaani ng‟ampita muddu Ne nsaasirwa Nnyini-ggulu Ne nnaazibwa mu Batismu. |
2. | 2. Erinnya eryo ery‟Abakristu Lye likira erya kabaka Yezu Kristu yalintuuma Erinnya eryo lya kitiibwa. |
3. | 3. Ndi musomi, ku kifuba Kubeerako Omusaalaba, Gwe nkwata nga nzijukira Yezu wange eyanfiirira. |
4. | 4. Ndi musomi kwe kwambala Omudaali gwa Maria, Nfuna amaanyi nga ndowooza Nti nnina Mmange ambeera. |
5. | 5. Ndi musomi nze ssemotya Yezu Kristu yandokola; Bwe yafa ku Musaalaba Nampa mmange ye Maria. |
By: W.F |