Indirimbo ya 394 mu CATHOLIC LUGANDA
394. NAABAYIWAKO AMAZZI
1. | (Fr. Vincent Bakkabulindi) Ekidd.: Naabayiwako amazzi amatukuvu Gabamaleko kazambi yenna mutukule Ebyo Omukama y’abitugamba. |
2. | 1. Ayi Mukama, Mukama waffe, mu nsi yonna yonna Lyewuunyizibwa erinnya lyo ekkulu eryo; Ggwe eyasukkulumya bw‟otyo ekitiibwa kyo n‟okikiza n‟eggulu. |
3. | 2. Ayi Mukama, Mukama waffe, abawere n‟abayonka leero Bagenda okuziyiza omulabe omuzigu Mu kamwa kaabwe mwe wategeka ettendo ly‟obalumbisa. |
4. | 3. Omwezi n‟emmunyeenye Ggwe bye wawangawo Bwe ndaba eggulu bwe liradde Ndaba omulimo ogukoleddwa n‟engalo zo ezo Naye omuntu y‟ani naawe gw‟ojjukira n‟omussaako omwoyo? |
5. | 4. Ettendo n‟ekitiibwa wamutikkira, byonna y‟abitwala Wamuwa okulamula, emikono gyo bye gikola. Wasukkulumya bw‟otyo obuyinza bwe n‟omufuza n‟ensolo. |
6. | 5. Beera n‟ekitiibwa Patri Katonda, ne Mwana kibe kikye Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu. Nga bwe kyaliwo olubereberye na kaakano na bulijjo Emirembe n‟emirembe Amiina. |
By: |