Indirimbo ya 395 mu CATHOLIC LUGANDA
395. NNALONDWA TAATA
1. | Bass: Nnalondwa Taata n‟ambeera n‟anzisa mu babe abeebonanye Sop: Abeebonanye mu luse lwe, Abakkiriza nga babatizibwa, Nga babatizibwa, nga babatizibwa. Ne bansiiga omuzigo mu Kigambo ky‟Omukama Ne nzibuka aa ne nnunulwa. Nnaatya ki, nnaatya ki, nnaatya ki nkakasa Lwe nnabatizibwa Kristu gwe nneekola, Nnabatizibwa mu kufa kwe, nnamwambala Ye bwe bulamu Ye bwe bulamu naatya ki? Soprano: Bass: |
2. | 1. Mu Ye ku bbatirizo Twabbulwa, twabbulwa Ekiremba ekyeru ekyankwasibwa ,, Nkituuse ew‟Oyo azaala Mwana ,, Mwoyo Mutuukirivu Omukubagiza ,, Nnyamba ettaala gye nnakwasibwa ,, Ereme okuzikira ngituuse ng‟eyaka ,, Batismu ebe nnywevu. ,, |
3. | 2. Endagaano za Batismu ze twakuba Nga tubatizibwa tuziddemu, Okukakasa era nga tuwera tetukyadda mabega, Sitaani n‟emitego gye gyonna Tugidduka awatali kutunula mabega, Ebyabakulu eby‟edda, abalongo n‟amasabo nabyo tubyegaanye, Temuli kirungi wabula effuga bbi lya sitaani |
By: Alphonse Ssebunnya |