Indirimbo ya 396 mu CATHOLIC LUGANDA
396. TULI BAANA -TULI BASIKA
1. | (Fr. James Kabuye) Sop & Alto: Mwoyo ayogerera mu ffe n‟atukakasa Nti: Ffenna abaabatizibwa mu Kristu Tuli baana, tuli basika, tuli baana, bantu ba Katonda abeebonanye. Bass: TU…….LI…….BAA…………NA Sop: Tuli baana, tuli basika, tuli baana, tuli basika, Bantu ba Katonda abeebonanye Kristu ye ntabiro, ffenna atugasse wamu, Ffe abaayungwa mu Mwoyo omu, ku lwa Batismu twafuuka omu, Muntu omu, Kitaffe atenderezebwe. Sop & Alto: Okutukuzibwa omutima guteekwa okukkiriza Okulokoka, akamwa kateekwa okwatula nti: Yezu ye Mukama, eyazuukira n‟atulokola Teri linnya, teri linnya ddala lyonna mwe twalokorerwa Wabula mu linnya lya Yezu Omuwanguzi. Tuli baana, tuli basika ……………… Sop & Alto: Abatwalibwa Mwoyo, abatwalibwa Mwoyo, Be baana ba Katonda, naffe twafuna ku Mwoyo omu ow’abalondemu Kristu twamutwala n‟olukoba, ye muggulanda ffe baganda be Oba nno tuli baana, tuli basika ne Kristu, Tuli basika ba Ggulu. Tuli baana, tuli basika …………….. |
By: |