Indirimbo ya 397 mu CATHOLIC LUGANDA
397. TULIBUYINGIRA OBWAKABAKA
1. | BWE (Fr. Expedito Magembe) 1. Tulibuyingira obwakabaka bwe, tulibeera eyo mu bwakabaka bwe Ffe ababatize abalondemu abaana b‟enngoma ab‟obwebange Tuli baana mu bwakabaka bwe, ffe be yatukuza abeebonanye Mu Batismu tuzaalwa buto, tuli baana ba Katonda oli Tuli baana ba Katonda oli, eggwanga lye ddala ery‟obwebange Tulibeera eyo mu bwakabaka bwe, bwe yategeka olw‟abalondemu. |
2. | 2. Tuteekwa buteekwa — kya mazima: Okuzaalibwa mu mazzi ne mu Mwoyo Tuteekwa buteekwa — kya mazima: Okuzaalibwa okuzaalibwa ogwokubiri. |
3. | 3. Mu mazzi ne mu mwoyo – Yee – bwe yalagira atyo – Tuteekwa buteekwa Okuzaalibwa ogwokubiri, tulyoke tuyingire mu bwakabaka bw‟ategese. |
4. | 4. Ekizaalibwa omubiri – ekizaalibwa omubiri – guba mubiri – guba mubiri wamma Naye ekizaalibwa omwoyo – guba mwoyo mazima – guba mwoyo, guba mwoyo – guba mwoyo. |
5. | 5. Mwoyo oli y‟atuzaala, tuzaalibwa mu Mwoyo wa Katonda Mwoyo oli y‟atuzaala, Mwoyo ye, ye gwe twanywako Ago leero gatutukuza amazzi ga Batismu gatuzza buto Ago leero gatutukuza ne tunaazibwa ebibi ne biggwaawo. |
6. | 6. Ffe ababatize – tusaana tufube – okutuuka – mu bwakabaka bwe Kati tweraba – nga tuli baggya – mu kitiibwa – eky‟olubeerera Ffe ababatize – ffe tulituukayo – mu kitiibwa – eky‟olubeerera Eyo Mukama – Katonda – eyo gy‟Ali – tulituukayo, tulituukayo Ffe ababatize – tulituukayo mu bwakabaka bwe. |
By: |