Indirimbo ya 398 mu CATHOLIC LUGANDA
398. WANNONDA DDUNDA
Ekidd: | |
:Wannonda Ddunda Ddunda Wannonda Ddunda Ddunda N’osiima mbeere wuwo N’osiima mbeere wuwo Wanfuula mwana, nga mbatizibwa Nga mbatizibwa Wansiiga omuzigo, N’onkakasa mu butume bwo N’onkakasa mu butume bwo Nnafuuka kiggwa mw’osiiba Mw’osiiba Mw’otuula, Ggwe Katonda Ggwe Katonda Ha! Nneesiimye, Nneesiimye Ha! Ng’onjagala. x2 Ng’onjagala. x2 | |
1. | 1. Mujje mulabe Omukama by‟akola, bya magero, Bisamaaliriza by‟akolera abantu. Tukwekola, Ggw‟atubumba, Tukwekola, Ggw‟atutaasa, Tukwekola, Ggwe Ddunda Lugaba. |
2. | 2. Mujje mulabe Omukama by‟akola, bya magero, Bisamaaliriza waddiramu abantu. Tukwebaza, Ggw‟atulokola, Tukwebaza, Ggw‟omusaasizi, Tukwebaza, Ggw‟alunda ffenna. |
3. | 3. Mujje mulabe Omukama by‟akola, bya magero, Bisamaaliriza wangobako obutamanya Ssirimbibwa buli ekijja, Ssirimbibwa mangu nnyo, Ssirimbibwa nze Kristu gwe mmanyi. |
4. | 4. Mujje mulabe Omukama by‟akola, bya magero, Kristu Katonda, Ggwe mmere y‟abantu! Tukwebaza Ggw‟atuliisa, Tukwebaza Ggw‟entanda, Tukwebaza Ggw‟atwewa wenna. |
5. | 5. Mujje mulabe Omukama by‟akola, bya magero, Bisamaaliriza by‟akolera abantu. Tuba naye buli wantu, Tuba naye mu nngendo Tuba naye ewaffe mu maka. |
By: Fr. James Kabuye |