Indirimbo ya 399 mu CATHOLIC LUGANDA
399. YEE TUSANYUKE NGA TUYIMBA
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Yee: tusanyuke nga tuyimba abaana ba Katonda Kitaffe be yaganza bw’atyo n’atwebonanya, Twesiimye tuli baana be. |
2. | 1. Oh! Kitalo nnyo ffe abantu okufuuka tuti abaana ba Katonda, Mu Batismu Kristu yatulokola, Mwoyo Mutukuvu n‟atujjula Kitaffe n‟atuganza. |
3. | 2. Oh! Kitalo nnyo ffe abantu obuntu okufuuka tuti eggwanga lya Katonda. Mu Batismu Kristu yatusonyiwa, Mwoyo n‟atujjamu, Kitaffe n‟atuganza. |
4. | 3. Oh! Kitalo nnyo ffe abantu obuntu okufuuka tuti abaganzi ba Katonda Mu Batismu Kristu yatuwa enngoma, Mutukuvu n‟atubbula, Kitaffe ye muzadde. |
5. | 4. Oh! Kitalo nnyo ffe abantu obuntu, okufuuka tuti ennyumba ya Katonda; Mu Batismu Kristu ffe tumwambala, Mwoyo Mutukuvu atusulamu Kitaffe wa buyinza. |
By: |