Indirimbo ya 400 mu CATHOLIC LUGANDA
400. AYAGALA OBUFUMBO
1. | 1. Ayagala obufumbo wulira, ekibunyweza Katonda Amayisa amalungi mu buvubuka, ge gategeka obufumbo (nyweza) Wesseemu ekitiibwa, wekuume tojeerajeera, Weeyise bulungi, ng‟ogoberera amayisa amalungi. |
Ekidd: | |
: Ddunda ….. yamba abavubuka Ddunda nyweza… nyweza abafumbo Ddunda yamba nnyo … yamba abavubuka Ddunda yamba … yamba abavubuka Ddunda nyweza abavubuka, beetegekere obufumbo. | |
2. | 2. Ng‟oyagala abavubuka abavumu, ababazaala bafumbo, Amayisa amalungi mu bufumbo; ge gatendeka ababaamu (nyweza) Eddiini gikwate, wekuume tokyukakyuka, Weesigenga Yezu, y‟alikulaga obulamu obulungi (y‟akulaga). |
3. | 3. Ayagala obufumbo tegeka, embeera y‟ensi nzibu nnyo (obufumbo) Mu kumanya okusonyiwa asobezza, mwe musibuka okuganja (nyweza) Weveemu walondwa, mu ddiini toyuugayuuga, Nywerera ku Yezu, ng‟ogoberera amayisa amatuufu. |
By: Fr. James Kabuye |