Indirimbo ya 403 mu CATHOLIC LUGANDA
403. EKISA KYA KATONDA
1. | 1. Ekisa kya Katonda Nga tekitendeka Ggwe bwe watonda omuntu edda Wabakola bombi. |
2. | 2. Adamu ye yasooka N‟Eva muganzi we Wabagatta Ggwe nnyini N‟obawa omukisa. |
3. | 5. Tukuza endagaano Ze bakuba bombi Babeerenga babiri Okuva olwaleero. |
4. | 6. Basanyuke bulijjo Mu bufumbo bwabwe Bakubagizibwe nnyo Nga bafuna abaana. |
By: Fr. Gerald Mukwaya |