Indirimbo ya 404 mu CATHOLIC LUGANDA
404. KATONDA KY’AGASSE AWAMU
1. | (George Ssebutinde) Ekidd.: Katonda ky’agasse awamu, yagamba tekigattululwa, Kati mufunye omukisa gwe, abagasse mufuuse omuntu omu, Abayiweko emikisa gye, muzaale mwale mufuge ensi eno Katonda ky’agasse awamu, tebangayo akigattulula. |
2. | 1. Edda mu masooka g‟ensi, Mukama yakisalawo, Nti si kirungi musajja kuba bw‟omu Tumufunire omuyambi amufaanana, Naawe ofunye omubeezi wo, mukuume mu mukwano gwo, Mwagalane bulijjo, mukuume okutuusa okufa. |
3. | 2. Edda mu masooka g‟ensi, Mukama yakisalawo, Omukazi okuwulira bba nga bali mu bufumbo Naawe wulira akulagira, muwenga ekitiibwa kye, Mwagalane bulijjo, omuyambe okutuuka mu Ggulu. |
4. | 3. Mmwe nno abafumbo, Yozefu mumulabireko, Maria yamukuumanga mu bwesige ne mu kwagalana Nammwe munywere mu bufumbo, mu bwesige ne mu kwagalana. Mumwesigenga Katonda, abakuume okutuusa okufa. |
5. | 4. Mmwe nno abafumbo, Ekika Ekitukuvu mukirabireko, Maria ne Yozefu nga bali ne Yezu bassa kimu, Nammwe munywere mu bufumbo, nga mufunye abaana mubalabirire nnyo Mubagunjule bulijjo, Katonda abakuume okutuusa okufa. |
By: |