Indirimbo ya 406 mu CATHOLIC LUGANDA
406. KATONDA WA YIBRAIMU
Ekidd: | |
: Katonda wa Yibraimu – abagatte wamu Owa Yizaake – ,, ,, Owa Yakobo – ,, ,, Ababadde abalangasa, ababadde abalangasa n’abasaasira, N’abatuusa ku kitiibwa eky’obufumbo leero atenderezebwe Leero atenderezebwe. Ddunda eyakola obufumbo, atenderezebwe. | |
1. | 1. Mu masooka g‟ensi, Katonda yagamba omusajja bw‟ati: Ssi kirungi omuntu okubeera obw‟omu, Tumukolere omubeezi we, amufaanana. |
2. | 2. Mu masooka g‟ensi Katonda eyatonda omusajja n‟omukazi, Katonda yabawa omukisa nti “muzaale mwale”. Mujjuze ensi yonna, mugifuge yonna. |
3. | 3. Mu masooka g‟ensi Katonda yagamba omusajja n‟omukazi, Omusajja anaaleka kitaawe ne nnyina, N‟anywereranga ku mukazi we, ne bafuuka mubiri gumu. |
By: Fr. James Kabuye |