Indirimbo ya 407 mu CATHOLIC LUGANDA
407. MU MASOOKA G’ENSI
1. | 1. Mu masooka g‟ensi – Mu masooka g‟ensi Mu masooka g‟ensi – ,, ,, Omutonzi w‟ensi n‟agamba bw‟ati omusajja: Ssi kirungi – ssi kirungi x2 Ssi kirungi omuntu okubeera obw‟omu:// x2 SSI KIRUNGI N‟AKAMU. Tumukolere omubeezi we, tumukolere amufaanana omubeezi we. |
Ekidd: | |
Katonda, Katonda, Katonda wa bajjajja abagatte wamu, Abagatte wamu, mmwe ababadde abalangasa n’abasaasira, N’abatuusa ku bufumbo, mu kitiibwa eky’obufumbo, //Abanyweze mu mukwano gwe ne mu mukwano gwammwe emirembe. x2 | |
2. | 2. Mu masooka g‟ensi – Mu masooka g‟ensi x2 Omutonzi w‟ensi n‟agamba bw‟ati omusajja: Ssi kirungi – Ssi kirungi x2 Bass: Ssi kirungi ekyo – Ssi kirungi Ssi kirungi omuntu okubeera obw‟omu. x2 SSI KIRUNGI N‟AKAMU. Oyo ye Adamu eyasookawo, omukyala Eva n‟addako; omubeezi we. |
3. | 3. Mu masooka g‟ensi – Mu masooka g‟ensi x2 Omutonzi w‟ensi n‟agamba bw‟ati omusajja: Ssi kirungi – Ssi kirungi x2) Ssi kirungi omuntu okubeera obw‟omu. x2 SSI KIRUNGI N‟AKAMU. Omukisa gwe olwo n‟abawa, okuzaala n‟abaliddako, ku buyinza bwe. |
4. | 4. Mu masooka g‟ensi – Mu masooka g‟ensi x2 Omutonzi w‟ensi n‟agamba bw‟ati omusajja: Ssi kirungi – Ssi kirungi x2 Ssi kirungi omuntu okubeera obw‟omu. x2 SSI KIRUNGI N‟AKAMU. Omusajja ng‟amukuutira, okunywera ku mukyala we, oyo gw‟afunye. |
By: Fr. James Kabuye |