Indirimbo ya 408 mu CATHOLIC LUGANDA
408. MUGENDE MIREMBE
1. | 1. Katonda ow‟obuyinza, Mmwe abawe omukisa Obufumbo bwammwe mmwe, Ddunda abunywezenga. Ekidd.: Ggwe omwami ggwe omukyala Mugende mirembe, mugende mirembe Abagole baffe byonna biwedde, Mweraba, mweraba, gye munaalaga yonna, Kristu abeere nammwe, mweraba. |
2. | 2. Obufumbo obutuufu Mubunywezenga Okubumenya kivve, Ddunda abuwandiise. |
3. | 3. Abaana mubazaale, Nga balungi ddala, Bakule nga ba ddiini Mpisa ez‟abantu. |
4. | 4. Katonda abayiire, Mmwe okwagala kwe, Kubanyweze mwembi mmwe, Ddunda abawe eddembe. |
By: Fr. James Kabuye |