Indirimbo ya 409 mu CATHOLIC LUGANDA
409. MUKAMA YAMBA ABAFUMBO
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Mukama Ggwe kuuma yamba abafumbo Banyweze obufumbo obutuufu bwe wassaawo Ensibuko y’obulamu, ekkubo ly’obutuukirivu. |
2. | 1. Endagaano y‟ababiri wamma wagiwa omukisa omusukkirivu, Gwe musingi gw‟obulamu n‟okulokoka gwe wassaawo. |
3. | 2. Ekikolo ky‟eddiini wamma akabonero ka Kristu alokola Bwe bufumbo obutuufu bwe wassaawo. |
4. | 3. Abavubuka baffe wamma bawenga okwagala n‟okwettanira Obufumbo obutuufu bwe wassaawo. |
By: |