Indirimbo ya 410 mu CATHOLIC LUGANDA
410. MUKAZI WO ABEERENGA
1. | NG’OMUZABBIBU (Fr. James Kabuye) 1. Mukazi wo abeerenga ng‟omuzabbibu ogubala ennyo, mu nnyumba yo. Ekidd.: Bw’atyo bw’afuna omukisa ogw’enjawulo, omuntu oyo atya Omukama bulijjo. |
2. | 2. Obwana bwo, bubeerenga ng‟obulokolerwa bwa oliva, mu nnyumba yo. |
3. | 3. Ennyumba yo, esakaatire okukira ne Cedro ez‟oku Libano, mu nnyumba yo. |
4. | 4. Ennyumba yo ebeerenga n‟obugagga obutagambika, mu nnyumba yo. |
5. | 5. Ezzadde lyo, libeerenga n‟obuyinza mu nsi gy‟ekoma, mu nnyumba yo. |
By: |